ABABAKA SSEGIRINYA NE SSEWANYANA: Kkooti egaanye emisango egibavunaanibwa okuwozesebwa olumu
Kkooti enkulu ewozesa egyanaggomola eragidde nti ababaka Allan Ssewanyana ne Muhammad Ssegirinya baakusigala nga beewozaako mu kkooti zombi okuli ey'e Masaka n'eyawano mu Kampala ku misango gy'obutemu egibavunaanibwa. Omulamuzi wa kkooti eno Alice Komuhangi agaanye okusaba kw'ababiri bano okugata fayiro zaabwe bewozeeko omulundi gumo, ng'aagamba tekisoboka kubanga waliwo bebavunaanibwa nabo abali ku fayiro emu nga tebali ku ndala so ng'era ekikolwa eky'okugata kikolebwa ku misango gya ngasi so si egyanaggomola egyivunanibwa bano. Bannamateeka baabwe bagamba sibakupondooka okutuusa ng'abantu baabwe bateereddwa