Abatwa bakukkulumidde gavumenti okubagobaganya mu bibira gyebaali bawangaalira kyokka n’ebasulawo
Abatwa bakukkulumidde gavumenti okubagobaganya mu bibira gyebaali bawangaalira kyokka n’eremererwa okubazimbira enyumba saako n'okubatusaako obuweereza obw’enjawulo nga obujanjabi, amasomero, amazzi n'ebirala. Obulabirizi bwa Kinkiizi mu disitulikiti y’e Kannungu bututegeezezza nga bwebwavaayo n’enteekateeka okulaba nga bakwatirako Abatwa okukyusa obulamu bwabwe gyebatuuma Batwa Development Program. Okwogera bino aba Nazarene Family babadde bakyaddeko mu nkambi abantu bano gyebawangaalira era nga babadduukiridde n'ebintu eby'enjawulo.