Ebibiina by’obwannakyewa by'ekokodde ababaka ba palamenti okwerema okuyisa etteeka ku mwenge
Ebibiina by’obwannakyewa ebirwanyisa enkozesa y’omwenge embi, byekokodde ababaka ba palamenti okwerema okuyisa etteeka ku mwenge, olw’ensonga ezitategeerekeka. Abatwala ebibiina bino bagamba gavumenti gyekomye okulemwa okuyisa etteeka ku nkozesa y’omwenge, kyekireetedde abantu okugunywa ennyo nebalema n’okweggya mu bwavu, so nga bangi baalwala dda olw’ettamiiro. Bagamba nti wadde guli gutyo, tebagendma kupodooka, baakusigala nga basomesa bannayuganda akabi akali mu kunywa omwenge okususse.