Abakazi abali mu makomera tebakwettanidde
Omuwendo gw’abasibe abakyala abasalawo okukozesa omukisa oguliwo okusomera mu kkomera mu kiseera kye bamalayo mutono ddala. Omwaka guno, P7 yatuuza omusibe omukyala omu yekka ate ne siniya eyookuna, ku basibe 27 abaatuula, kwaliko omukyala omu yekka. Twogeddeko n’omusibe ono Joweria Kaweesi n’atubuulira nti okusomera mu kkomera guba mutima na kwewaayo era alambuludde ebizze biremesa banne be yatandika nabo okumalako.