Abakugu boogedde obuzibu webuli ku bigimusa ebitazaaza ttaka
Omulimu gw'obulimi mu Uganda kizuuse nti gwongedde okufa olw'ebigimusa ebitatuukana na mutindo abalimi bye beeyambisa ng'oba oli awo kino kizze olw'obutafayo bwa gavumenti obutayambako bamukwata-busimo okumanya ekituufu eky'okukozesa. Kati gavumenti egamba nti nga bw'efuba okutondawo enkola ezituusa ku balimi ebijimusa eby'omulembe, nabo basaanye okukyusa mu nnima yaabwe eviirako ebigimusa obutakola.