Abalabirira abaliko obulemu boogedde okusoomoozebwa kwe basanga
Abaana bangi mu Uganda bazaalwa nga baliko obulemu songa ate abaala babufuna bazaaliddwa. Kyoka e Nkokonjeru waliwo amaka g’abasisita agamanyiddwa nga Providence Home agasalawo okulabirira abaana abaliko obulemu, naddala ababazadde abatasobola kubalabirira, kko n’abetaaga okubeerwa. Tutuuseeko mu maka gano ne batubuulira kyebayitamu okulabirira abaana ab’ekikula nga kino.