Abalamazi bakyatuuka e Namugongo, aba bizineesi bali mu kw’ekwata bifo
Buli lukya ebbugumu lyeyongera na ddala ku kiggwa ky'abakatuliki e Namugongo, nga okwetegekera okujjukira abajjulizi abafiirira eddiini kusembera nga 3 June. Abakola business mu kifo kino batandise okwekwata enfo buli omu w'asuubira nti abaguzi webanamusanga. Abafumbi b'emmere be basinze okwesooka Namugongo kubanga ne webuzibidde olwaleero nga abalamazi abakatuuka bakunukkiriza okuwera olukumi.