Bannamateeka bawadde entaputa ku kiyinza okuddirira mu nsonga za Nalukoola
Olunaku lw’eggulo kooti enkulu yasazeewo nti abadde omubaka wa Kawempe North Elias Nalukoola agire ng’addako ku bbali , bweyakizudde nti ono aliko amateeka g’ebyokulonda geyamenya, Kyoka kino kijjide mu kaseera nga ekisanja kino kisemberedde okuggwako, era nga emyezi omukaaga egyirambikiddwa mu mateeka akakiiko ke byokulonda mwekatayinza kutegekera kulonda gyisemberedde. Twogeddeko ne bannamateeka ne batuwa entamputa y’etteka entuufu na kki ekiyinza okuddirira singa kooti tewa nsala yaayo mu budde ku kujjulira okugenda okukolebwa Nalukoola.