Okwetonda kwa Museveni Buganda ekwanirizza, eyagala kugobererwe n’ebikolwa
Obwakabaka bwa Buganda bwanirizza okwetonda omukulembeze w'e ggwanga Yoweri Kaguta Museveni kweyakoze naddala eri abantu ba Buganda olwa byonna byebayiseemu mu myaka 40 gavumenti ya NRM gyeyakamala mu buyinza.Kyoka bano bagamba nti okwetonda kuno kubulako ebikolwa, nadda okuzza ebintu bya Buganda byezze ebanja okuva mu gavumenti eyawakati olwo kulyoke kutwalibwa nga okw’ensonga.