Abalyoyi b’emyoyo n’abategesi b’ebivvulu bali mu keetalo
Olwaleero abategezi b'ebivvulu ssaako abalyoyi b'emyolo basiibye mu keetalo nga bateekateeka ebifo webagenda okuyingiriza bannayuganda omwaka omujja Abalyoyi bemyoyo bagamba baakuwonga eggwanga eri omutonzi lisobole okuyita mu biseera bya kalulu kabonna aka 2026 nga teri butabanguko bwonna Baker Mulinde atuuseeko mu bifo ebyenjawulo wano mu Kampala okulaba engeri gyebitegekeddwamu .