Abamu ku baakosebwa mu njega y’e Kiteezi baamuse enkambi
Tukitegedde nti Abantu abasukka mu makumi ataano be baamuse enkambi ey'ekiseera eyateekebwawo okubuddamya abantu abaakosebwa mu njega y'e Kiteezi. Okusinzira ku Red Cross, abaavudde mu nkambi eno bebo abaali abapangisa mu nnyumba ezaakosebwa okubumbulukuka kw'akasasiro. Bbo bannyini mayumba agaayonoonebwa mu njega eno bakyagumbye mu nkambi eno, nga bwe balinda gavumenti ebalambike ku kiki ekiddako .