Abantu abawerako e Kasese tebakyalina maka lw’amataba
Amataba agaavudde ku kubooga kw'omugga Mobuku mu disitulikiti ye Kasese galese abatuuze ku kyalo Kabuga mu ggombolola ye Karusandara nga bali mu kusoberwa. Amataba gano galese ennyumba eziwera tezikyasulikamu so nga n'ebirime bingi gabyonoonye.Okubooga kw'omugga Mobuku kwava ku nkuba eyatonnya mu nsozi za Rwenzori ku Sande ewedde.