Abasawo bagamba abakwatibwa kawaali w’enkima beeyongedde
Minisitule ye byobulamu etubuulidde nti ekirwadde kya kawaali w'enkima kyakatta abantu mukaaga mu ggwanga lyonna, kyoka nga ggwo omuwendo gwabalwadde gutuuse ku 1,044. Dr. Daniel Kyabayinze akola ku by'obujanjabi atubuulide nti disitulikiti 57 zezakazuulwamu ekirwadde kino, wabula nga kisinga mu Kampala ne Wakiso. Ono ayagala abantu babeere begendereza nnyo naddala mu kaseera kano ak’ennaku enkulu.