Munnauganda Ali Mugisha atendeka ttiimu y’eggwanga lya Kenya
Omutendesi wa ttimu y'eggwanga lya Kenya ey'omuzannyo gw'okubaka munnauganda Ali Mugisha agamba nti omuzannyo gw'okubaka mu ggwanga elyo gukulira ku misinde gya yiriyiri era nga mukiseera kitono Kenya yakutandika okuwa Uganda obuzibu obwamanyi. Kiddiridde Kenya okusenvula okuva mu kifo ekya 40 nedda mu kya 26 munsengeka y'amawanga agazannya omuzannyo guno munsi yonna.