Abasilaamu basabye palamenti eyingire mu nsonga za Sheikh Mubajje
Waliwo ekibinja ky’Abasiramu abawakanya obukulembeze bwa Muft Wa Uganda Sheikh Shaban Ramadan Mubajje abasazeewo okwolekera palamenti olunaku olw’enkya bagiropere ku bye balaba nga tebigenda bulungi ku muzigiti gwa Kampala mukadde. Bano okuvaayo kyaddiridde Mufti Mubajje nate okulayira ku kisanja ekirala kya myaka etaano, wansi wa ssemateeka wa Uganda Muslim Supreme Council eyakolebwamu enongosereza. Bano babaze ekiwandiiko kye bagamba nti bagenda kukikwanga sipiika Anite Among alabe engeri gy'ayinza okubayamba.Ayogerera Uganda Muslim Supreme Council - Ashraf Muvawala bano abawabudde nti gyebatwala ensonga zaabwe wandiba nga wakyamu.