Abatuuze mu Ibanda badduse mu maka gaabwe lwa kutta omuserikale wa poliisi
Tukitegedde nti e Ibanda Poliisi yakakwata abantu abasukka mu 50 nga bano bateeberezebwa okubaako kye bamanyi ku kuttibwa kw’omuserikale Sulaiman Chemonges eyabadde agenze okukuuma omukolo gw'okuziika omutuuze eyafiira mu kkomera. Tuzeeyo ku kyalo Kyembogo, mu Division ye Bisheshe mu Munisipaali ye Ibanda netusanga nga bangi ku batuuze badduse mu nyumba zaabwe nga batya okukwatibwa. Omubaka wa Pulezidenti e Ibanda agambye nti baakufuba okukwata buli eyenyigidde mu butemu buno.