Abazigu balumbye ekyalo e Kassanda, baliko be batemyetemye
Waliwo ab’ebijambiya abaayingiridde amaka asatu ag’enjawulo e Kassanda ne batemaatema ab’omunju ne banyaga n’ebyabwe. Mu gamu ku maka gano, abazigu baasoose kulabiriza baamumaka emisana ne bababbako ensawo z’emmwaanyi. Abantu babiri be baalumiziddwa era bino bibaddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero ku kyalo Kyoga ekisangibwa mu town council y’e Kassanda.