Akamyufu ka NRM, ebifo ebibaddemu akavuyo byakuwerebwa
Akakiiko k’eby’okulonda mu kibiina ki NRM kalabude nga bwekagenda okusazaamu okulonda mu bifo byonna gyekanazuula emivuyo mu kulonda kw’abakulembeze abasokerwako okugenda mu maaso.Akulira akakiiko kano Tanga Odoi agambye nti ebitundu nga ssembabule bigufudde mugano okukola effujjo nokutabula okulonda, ekikosa entekateeka zonna.Okutubuulira bino babade balambika ntekateeka z’akulonda abakulembeze ba NRM mutendera gwa disitulikiti ne munisipaali okwokubawo enkya.