Akatale ka Gwanda kagaddwa, bivudde ku nkaayana ku ttaka kwe kali
Abasuubuzi abakolera ku katale akamanyiddwa nga Gwanda akasangibwa mu kisenyi wano mu kampala bakedde kwerya mugujju nga kiddiridde omusuubuzi Bosco Muwonge okukeera okukuba ekibaati ku katale kano. Tukitegedde nti ettaka lino omusuubuzi Muwonge yalifunako liizi ya myaka 99 okuva mu Buganda Land Board , kyoka awavude emberebezi ye Mengo okumugaana okuliguza gavumenti eteekeko akatale k’abasuubuzi ak’omulembe nga tanasasula busuulu. Embeera eno eggye abasuubuzi mu mbeera ne bamenya ebibaati ebibadde bikubiddwa ku katale kano.