Amafuta agasimwa agazuulwa mu Uganda gagenda kusengejjebwa okufuuka amafuta gennyini
Amafuta agasimwa agazuulwa mu uganda gagenda kusengejjebwa okufuuka amafuta gennyini , mu myaka enna okuva leero, nga kino kiddiridde gavumenti okuteeka omukono ku ndagaano ne kampuni ya Alpha MBM e Dubai nga 31 March 2025. Ateekerateekara minisitule y’amasanyalaze Irene Bateebe agambye nti puloojekiti eno egenda okuwemmenta obuwumbi bwa doola obuna 4, yakuyamba nnyo okutebenkeza ebeeyi y’amafuta etataagana. Sudhir Byaruhanga ayogeddeko ne Irene Bateebe mu mboozi eyakafu