Amasasi e Buloba: Poliisi enunudde omukungu wa misiri
Poliisi ya kuno ekakasizza nga bw'enunudde munnansi w'eggwanga lya Misiri abadde yawambibwa akabinja k'abamenyi b'amateeka n'ekigendererwa eky'okufuna ensimbi. Tukitegedde nti Muhammed Ali Abu yabula okuva nga 8 Omwezi guno ekyawaliriza banne okuwaaba omusango ku poliisi nayo eyatandikirawo omuyiggo. Mu kavuvubgano k'okutaasa Ali, omuwambi omu akubiddwa essasi erimutiddewo, ne wabaawo n'omukazi akwatiiddwa wabula ng'ebimukwataako tebinategeerekeka. Omuwambe poliisi egamba ali mu mbeera nnungi era mukozi ku kitebe ky'eggwanga lya Misiri kuno.