Amataba agaagoyezza Kampala gaalesse bangi tebalina kiddako
Negyebuli kati abantu abaakoseddwa amataba mu nkuba eyafudembye olunaku lw’eggulo bakyali mu kukusoberwa nga mpaawo amanyi kya kuzaako. Bano bekkokola abantu abazimba mu ntobazzi be bagamba nti balemesa entambula y’amazzi okukakana nga gafuuse mataba. Gwo omuwendo gwabafudde tutegedde nti buli kadde gweyongera - nga e nakawa yokka abantu munaana bebaafudde.