AMAZAALIBWA GA KABAKA: Obwakabaka bukunze abantu okwetaba mu kusaba e Lubaga
Obwakabaka bwa Buganda bukunze bannayuganda okweyiwa ku lutikko e Lubaga awagenda okuba okusaba okukulu okw'okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebe II ag'emyaka ensanvu. Okusaba kuno kwakutandika ku ssawa mwenda ez'olweggulo. Minisita wa Buganda ow'ebyamawulire, Israel Kazibwe Kitooke yasomye ekiwandiiko kya Katikkiro Charles Peter Mayiga.