Anifa Kawooya alemesezza amuvuganya okunoonya akalulu e Mawogola
Abawagizi ba Minister omubeezi ow'ebyobulamu era omubaka wa Mawogola West Anifa Kawooya bagwanganye mu malaka naba Uthman Kateregga ayagala okumusigukulula mu kifo kino ng’entabwe evudde ku Anifa Kawooya kugezaako kuyimiriza buli lukungana munne Kateregga lwabadde akuba mu bitundu eby’enjawulo.Obwedda buli kafo Kateregga kayimiriramu okwogerako eri abawagizi b’e, nga Anifa Kawooya obwedda awerekerwako ab’ebyokwerinda ng’ayingirawo nga alumiriza nti yabadde alina okukubawo olukungana.