Baabano abavubuka abeekolamu ekibiina okudduukirira abali obubi
E Nansana mu disitulikikiti ye Wakiso Eriyo abavubuka abeekolamu omulimu ne batandikawo ekibiina okusobola okuyamba ku bannaabwe ku bikozesebwa nga bali ku masomero.Abavubuka bano beegattira mu kibiina kye baatuuma Treasure Childrens Charity era nga beekunganyamu ebimu ku bikozesebwa bwe baweebwa okutwala ku masomero ne bawaako bannaabwe abatalina.