Baabano abayizi abatambula olugendo okusoma
Okunoonyereza okuzze kukolebwa kulaga nti abaana okutambula eng’endo empanvu naddala okutuuka ku masomero zeezimu ku nsonga ezisinga okukosa eby’ensoma yaabwe. Mu gombolola ye Kalonga e Mubende tukizudde nga abaana abasinga naddala abawala tebasukka kibiina kya musanvu, nga kino kiva ku kya gombolola eno obutabaamu ssomero lya siniya lyonna elya gavumenti ekiwaliririza abaana okutambula olugendo okutuuka mu gombolola ye kiganda mu district ye kasanda.Ab’ebyenjigiriza batubuulidde nti abaana abawala mu kitundu kino abasinga olumala ekibiina eky’omusanvu nga bafumbirwa.