BENEDICTO KIWANUKA : Wabaddewo okumusabira e Lubaga
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asomoozezza gavumenti okukola ku nsonga ezattisa ssaabalamuzi wa Uganda eyasooka Benedicto Kiwanuka mu 1972, okuli obukulembeze obutambulira ku mateeka saako okwetengerera kw'essiga eddamuzi.Bino bibadde mu bubaka bwe bwattisse eyaliko Katikkiro Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere mu kusaba kw’okujjukira Benedicto Kiwanuka.Ye Ssaabalamiuzi wa Ugganda Alfonse owiny-Dollo, Benedicto Kiwanuka amwogeddeko nga omukulembeze ow’enjawulo eyaleka okutunuulira enjawukana mu mawanga nga aweereza eggwanga lye.Ate ye akulira NUP Robert Kyagulanyi alaze obwennyamivu nga agamba ebyattisa Ben Kiwanuka bikyagenda mu maaso.