Crested Cranes eyogedde bye yayize mu gya Algeria
Sheryl Botes, Omutendesi wa ttiimu y'eggwanga ey’abakazi abasamba ogwebigere - Crested Cranes ategeezezza nga bwebaafunye eby’okuyiga ebiwerako byebagenda okukozesa nga b’etegekera empaka z’okusunsulamu abanaazannya Afcon w’abakyala ku lukalu lwa Africa.Ttiimu eno teyasobodde kuwangula mupiira gwonna mu nsinsinkano ezomukwano ze baabadde nazo mu ggwanga lya Algeria.Bano bakomawo lunaku lw'enkya .