E Kasese abazaala nga tebaneetuuka beeyongedde
Ebitongole binakyewa ebirwanirira eddembe ly’abaana n’abakyala mu disitulikiti ye Kasese bigamba nti abaana abafumbirwa, kko n’abafuna embuto nga tebanetuuka gukyali waggulu ddala. Bagamba nti omutawaana guno okusinga guva ku bwavu, n’abazadde okugaana okuwerera abaana baabwe. Baagala gavumenti n’abazadde bakwatire wamu okulwanyisa omutawaana guno.