E Kibuli waliwo ekibinja ekijjukiza abasilaamu okuzuukuka okulya ddaaku
Leero ziweze ennaku 17 bukyanga bayisiraamu batandika omwezi omutukuvu ogw’ekisiibo ogumanyiiddwa nga Ramathan.E Kibuli - Wabigalo mu gombolola ye Makindye waliwo ekibinja ky’abavubuka abeewa obuvunanyizibwa obwokuzukusa abasiraamu okulya ddaaku, bano batalaaga ebyalo nga bwebayimba kwosa n’okukuba ebivuga.Tutambuddeko nabo, okulaba enkola yaabwe.