E Mbarara abatuuze bawuniikiridde olw’omwana attiddwa
Police ya Mbarara eri mukononyereza ku ttemu ery’omwana ow’emwaka ogumu n’emyezi musanvu, eyattiddwa mu bukaambwe mu kiro ekyakesezza olwaleero mubitundu bye Nyamityobora mu kibuga mbarara.Okusinziira ku poliisi ,bigambibwa nti Maama womwana ono yabadde agenzeko mubbala ku ddigidda olwo omwana namuleka munju nga yeebase.