Enkyukakyuka y’obudde eriko engeri gy’ekosezza ebyobulimi bw’emmwanyi e Bushenyi
Enkyukakyuka y’obudde efuuse okusoomoozebwa okunene era ekiro eky’entiisa eri abalimi b’emmwanyi mu Uganda. Embeera y’obudde etali nnungi, ekyeya ekisukiridde, n’okubalukawo kw’endwadde n’ebiwuka ebikosezza nnyo amakungula g’emmwanyi, bifuukidde abalimi b’emmwanyi mu Uganda akayinja mu ngatto Wabula wakati mu kusoomoozebwa kuno, abalimi mu district y’e Bushenyi bakozesa ennimba ey’omulembe egumira ekyuukakyuuka y’obudde okusigala nga bafuna kinene mu mmwanyi eyogerwako nti terimba