Abakadde bakukkulumidde gavumenti olw'obutakola kimala ku embeera yabwe bave mu kusabiriza
Abakadde abawangalira ku mwalo gw’e Masese n’ebyalo ebiriranyewo mu kibuga Jinja bakukulumidde gavumenti olw'obutakola kimala ku embeera yabwe bave mu kusabiriza. Bano bagamba bayisibwa nga abatalina mugaso, nga n’abaana baabwe abandibanoonyerezza eky’okulya baagobwa ku Nyanja kwebaali bafuna ekikumi.