Ab'e Kyengera mu Wakiso beekokodde ekivundu ekiva ku kasasiro ekisusse mu kitundu kyabwe
Abatuuze ku kyalo Maggwa Mpangala ekisangibwa mu town council y’e Kyengera mu Wakiso beekokodde ekivundu ekisusse mu kitundu kyabwe. Kino kiva ku kasasiro ayiibwa mu kitundu kyabwe - bagamba kasasiro ono wayiibwa kifo ekyasimwamu amayinja kyoka nga kati kasasiro gwebayiwayo abafuukidde ekizibu. Abatuuze bagamba kasasiro asaana aziikibwe nga tannalwaza bantu.