Ab'e Mbarara basanyufu oluvanyuma lw’okuggulawo olutindo lwa Katete
Abatuuze b’e Katete mu Kibuga Mbarara basiibye musanyu oluvanyuma lw’okuggulawo olutindo lwa Katete. Mu mwezi gw’okutaano omwaka oguwedde kanso y’e kibuga Mbarara yaggalawo olutindo luno oluvanyuma lwa abatuuze okwekalakaasa olw’engeri gyerwali lufaananamu. Luno lwaweebwa aba UPDF Engineering Brigade nebatandika okuludaabiriza ku bukadde bw’ensimbi 366.