Abasawo b’ekinaansi baagala watekebweewo etteeka erirung’amya omulimu gw’okusawula
Abasawo b’ekinaansi baagala watekebweewo etteeka erirung’amya omulimu gw’okusawula mu ggwanga. Bagamba nti abantu banji ensanji zino ababerimbikamu nebavumaganya omulimu gwabwe. Bano babadde Ndesse mu gombolola y’e Kasawo e Mukono mulukung’aana lwabwe oluggulawo omwaka.