E Gomba, waliyo omusajja asobeddwa oluvanyuma lw’okulumbibwa ekirwadde ekitategeerekeka
Ku kyalo Najjoki ekisangibwa mu disitulikiti y’e Gomba waliyo omusajja asobeddwa oluvanyuma lw’okulumbibwa ekirwadde ekitategeerekeka. Buno bwakwata kugulu nga kwasooka kumerako bitulututtu n’alowooza nti oba ttalo oluvanyuma yasalawo agende mu malwaliro ag’enjawulo okufuna obujjanjabi kyoka n’okutuusa kati akyalemeddwa okufuna obuyambi nga awamu bamusaba ssente empitirivu z’atalina. Ekisinga okukwasa ennaku nti muwala we ow’emyaka 11 y’amulabirira n’okuyimirizaawo amaka.