Katikkiro asabye abavubuka okukozesa obuvubuka bwabwe okukola ebintu eby'omugaso
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abavubuka okukozesa obuvubuka bwabwe okukola ebintu eby'omugaso ebinaabayamba mu bukulu. Okwogera bino abadde ku matikkira ga Muteesa 1 Royal University e Masaka abayizi abaweredde ddala 716 kwebatikkiddwa oluvanyuma lw’okumaliriza emisomo gyabwe ku mitendera egy’enjawulo.