Poliisi eweze abayimbi okuddamu okutambula n’omuyeye gw’abavubuka
Poliisi eweze abayimbi okuddamu okutambula n’omuyeye gw’abavubuka abaakazibwako eggaali. Kati egamba omuyimbi talina kusussa bantu 5 batambula nabo, era abanasangibwa bagenda kukwatibwa bavunaanibwe. Kino kiddiridde abavubuka bano okutandika okulwanagana naddala mu bivvulu nga kwotadde n’okwetuusaako obuvune - Mu ngeri yeemu, ekibiina ekitwala abayimbi ki National Cultural Centre, kiweze omuyimbi Pius Mayanja eyeeyita Pallaso ne Patrick Mulwana eyeeyita Alien Skin obutaddamu kuyimba okumala emyezi mukaaga.