Kyagulanyi akubirizza bannakibiina kye okwesimbawo mu bifo ebikubibwako akalulu
Pulezidenti wa National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu, akubirizza bannakibiina kye okwesimbawo mu bifo byonna ebikubibwako akalulu mu ggwanga kasita baba nga balina ebisaanyizo, olwo lwebanaasobola okukomya enfuga eyannakyemalira. Okusinziira ku Kyagulanyi, ebizibu bya Uganda byonna okuggwaawo, balina kusooka kufuna buyinza, wabula ssikukoma ku kwogera bwogezi. Kyagulanyi abadde ayogera eri bannakibiina omulundi ogusookedde ddala mu mwaka 2025, wakati mu kweteekerateekera akalulu ka 2026.