Abatuuze b’e kawempe basula mu kaabuyonjo etannaggulwa
Waliwo kaabuyonjo Y’olukale KCCA gye yazimba mu Division ye Kawempe abatuuze gye batandise okusulamu oluvannyuma lwa KCCA okulwawo okugiggulawo etandike okukozesebwa.Kaabuyonjo eno esangibwa ku Kyalo Kibe mu muluka gwa Makerere 3. Wabula meeya w’e Kawempe Emmanuel Sserunjogi atubuulidde nti waliw ebitannamalirizibwa ku kabuyonjo eno nga yensonga lwaki tebannaba kugiggulawo mu butongole.