E Mpigi waliwo akwatiddwa olw’okutaataganya enteekateeka z'enkalala z'abalonzi
Police mu district ye Mpigi eriko omuwala gw’ekutte nga ye Stella Nakayima kubigambibwa nti yabadde agezaako okutaataaganya enteekateeka z’okukebera enkalala z’abalonzi ku kyalo Nkozi A mu bitundu bye Kayabwe. Kyokka abakulembeze mu kitundu kino batubuulidde nti ono ekyamukwasiizza kwemulugunya ku bitali bituufu bye yalabye mu nkalala ate abakulu nebatafaayo.