E Ntebe abaayo beesunze okuyingira omwaka omujja, abamu baayingidde dda ebbaala
Abatuuze Mubitundu by'e Ntebe baatandise dda okwesunga okuyingira omwaka 2025 era nga waliwo abo abaayingidde dda ebifo awasanyukirwa okulindirira omwaka . Abalyoyi b'emyoyo nabo bali mu keetalo nga beesunga okuyingiza bannayugana omwaka omujja wakati mu kusaba . Abakulembeze mu bitundu by'e Ntebe bbo balabudde bannantebe ku bumenyi bwamateeka.