E Ntebe eyo waliwo omuvubuka Paul Masagazi alina kookolo amusimyesiimye omubiri
E Ntebe eyo waliwo omuvubuka Namagoye ng'obulamu bwe buli ku bunkenke oluvannyuma lw'okulumbibwa olumbe olwatuuse n'okumuwomoggola ebituli mu mubiri.Paul Masagazi, yali muvubuka eyeekolera wabula embeera ye ejja eyonooneka buli lukya nga kati n'olusu olumuvaamu ssi lulungi. Ono takyalina motoka ya lukale ekkiriza kumutwala sso nga obujjanjabi obusinga alina kubujja mu ddwaliro ekkulu e Mulago.Ba Namagoye bazze balajaanira gavumenti okubadduukirira mu mbeera gye balimu okusobola okubeerawo wabula bagamba nti tebafiriiddwako kimala.KUNO KULABULA; Ebifaananyi by'ogenda okulaba, newankubadde tufubye bifaananikeko, ssi birungi kulaba na ddala eri ow'emmeeme entono.