Ebbago ly’omubaka Lumu; Aba FDC bakunze ababaka baabwe okugisimbira ekkuuli
Ekibiina ki Forum for Democratic Change oba FDC kisimbidde ekuuli ekiteeso ky’omubaka Richard Lumu ekyokuleeta ennongosereza mu tteeka erifuga palamenti lisobole okuwa ababaka b’oludda oluvuganya okukuba akalulu ku akulira oludda oluvuganya. Bano era bagamba baakukunga ababaka baabwe mu palamenti okulaba nga bawakanya ebbago lino.