Sipiika Among akunze abakyala okukuuma ekitiibwa ky’amaka n’okukolera awamu
Sipiika wa Palamenti Anita Among, ayagala abakulembeze n’amawanga agava ku ssemazinga Africa, okukolera awamu okukuuma ekitiibwa ky’amaka ekirabika nga kiri mu kaseera akazibu, olw’okulumbibwa emize egyenjawulo okuva mu mawanga g'abazungu naddala omukwano ogwebikukujju. Among bino abyogeredde ku mukolo gw'abakyala ogutegekeddwa Palamenti nga gugendereddwamu okwefumiitiriza abakyala bye batuuseeko, okwezaamu esuubi, n’okusabira eggwanga.Bino bibadde Munyonyo.