Abakyala basabiddwa okwongera okwettanira ebibiina by’obwegassi
Abakyala basabiddwa okwongera okwettanira ebibiina by’obwegassi beegobeko obwavu nga bayita mu kutereka.
Okusaba kuno kukoleddwa minisita omubeezi ow’ensonga za Luweero Alice Kaboyo bwabadde ku mukolo gw’abakyala b’e Lubaga ne Makindye ab’egattira mu kibiina kyabwe ki Grameen Women Initiative nga bagabana ssente zaabwe zebaterese okumala omwaka mulambo nga abami baweereddwa n’ebyappa b’ettaka.
Bano minisita abasuubiza okwongera ne gav’t basobole okuduukirirwa.