Banassembabule, basiimye gavumenti okubaleetera enkola ya Parish Development Mode
Abatuuze mu miruka okuli Lutunku ne Kyabi e ssembabule, basiimye gavumenti okubaleetera enkola ya Parish Development Model, nti ekyusizza nnyo obulamu bwabwe.
Bagamba nti okuva lwebaafuna sente, obulamu bwabwe bukyuse.
Bino babibuulidde omubaka wa Mawogola North Shatis Musherure abadde agenzeeyo okubalabula okulaba engeri gyebaganyuddwa mu nteekateeka za gav’t ez’okwekulaakulanya.