Minisitule y'eby’obulamu erangiridde nga bwewabaluseewo obulwadde bwa Ebola Sudan mu ggwanga
Minisitule y'eby’obulamu erangiridde nga bwewabaluseewo obulwadde bwa Ebola Sudan mu ggwanga nga omuntu omu yeyakakakasibwa okufa olw'obulwadde buno. Ono abadde omusawo ku ddwaliro e Mulago Kigambibwa nti yafuna obujjanjabi mu malwaliro ag'enjawulo mu Kampala ne Mbale nga tannafa. Ateekerateekera minisitule y'eby'obulamu, Dr. Diana Atwine, asabye abantu okubeera obulindaala eri kirwadde kino.