Okusunsula aba S.1: amasomero gakendeezezza obubonero
Amasomero ga siniya agasinga obungi gakendeezeza obubonero kwegagenda okuyingiriza abayizi ba siniya esooka nga kino kivudde ku bayizi abatuula ebigezo by’eky’omusanvu omwaka oguwedde okuddirira mu nkola yabwe. Era wano minisitule y’eby’enjigiriza erabudde abakulira amasomero obutateekawo mbeera eremesa bayizi kuyingira mu masomero gaabwe gamba nga okubawa ebigezo ku ntandikwa. Olwaleero amasomero ga siniya lwegatandise okusunsula abayizi ba siniya esooka abagenda okugeegattako mu kibangirizi kyaba nnamakolero e Lugogo.